Genesis 24:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuwala n'ayanguwa n'agenda ewa nnyina, n'anyumya byonna ebibaddewo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omuwala n’adduka n’ategeeza ab’ennyumba ya nnyina ebintu ebyo byonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuwala n'adduka, n'abuulira ab'omu nnyumba ya nnyina ng'ebigambo ebyo bwe biri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuwala n'adduka n'agenda abuulira ab'omu nnyumba ya nnyina ebyo byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuwala n'addukana, n'abuulira ab'omu nnyumba ya nnyina ng'ebigambo ebyo bwe biri.