Genesis 24:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati nno Rebekka yalina mwannyina erinnya lye Labani; ono n'afuluma mbiro n'alaga eri omusajja ku luzzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lebbeeka yalina mwannyina, Labbaani, eyayanguwa okulaga ku luzzi eri omusajja,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Lebbeeka yalina mwannyina erinnya lye Labbaani; Labbaani n'afuluma n'adduka okusisinkana omusajja awali oluzzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Rebbeeka yalina mwannyina, erinnya lye Labani. Labani oyo n'afuluma n'adduka ng'alaga ku luzzi, awali omusajja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Lebbeeka yalina mwannyina, erinnya lye Labbaani: Labbaani, n'afuluma n'adduka okusisinkana omusajja awali oluzzi.