Genesis 24:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nkulayize Omukama Katonda w'eggulu era Katonda w'ensi, nti toofunire mutabani wange mukazi mu bawala Abakanaani mwe ndi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ndyoke nkulayize mu maaso ga Mukama Katonda w’eggulu era Katonda w’ensi, nga toliwasiza mutabani wange mukazi kuva mu bawala ba nsi ya Bakanani, mwe mbeera,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nkulayize Mukama Katonda w'eggulu n'ensi, nga toliwasiza mwana wange mukazi aliva mu bawala aba Bakanani be ntuulamu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nkulayize Mukama Katonda w'eggulu n'ensi, nti toliwasiza mwana wange mukazi ava mu bantu ba wano mu Kanaani, be mbeeramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nange naakulayiza Mukama, Katonda w'eggulu era Katonda w'ensi, nga toliwasiza mwana wange mukazi aliva mu bawala aba Bakanani, be ntuulamu: