Genesis 24:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yalaba empeta mu nnyindo n'obukomo ku mikono gya mwannyina, ng'amaze n'okuwulira byonna Rebekka by'anyumya nti: “Bino omusajja by'aŋŋambye,” n'agenda eri omusajja. Yali ayimiridde kumpi n'eŋŋamiya okumpi n'oluzzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Labbaani bwe yalaba empeta n’ebikomo ku mikono gya mwannyina, era bwe yawulira ebigambo bya mwannyina ng’omusajja bw’amugambye, n’agenda eri omusajja. Laba omusajja yali ng’ayimiridde awali eŋŋamira ku luzzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka, bwe yalaba empeta, n'emisagga egyali ku mikono gya mwannyina, era bwe yawulira ebigambo bya Lebbeeka mwannyina, ng'ayogera nti, “Bw'atyo omusajja bw'aŋŋambye,” n'ajja eri omusajja; era, laba, yali ng'ayimiridde mu mbiriizi z'eŋŋamira awali ensulo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Labani yamala kulaba mpeta n'obukomo, ku mikono gya mwannyina, era yamala kuwulira mwannyina oyo ng'anyumya ebyo omusajja bye yamugambye, n'alyoka agenda eri omusajja n'amusanga ng'ayimiridde ku mabbali g'eŋŋamiya ze, okumpi n'oluzzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka, bwe yalaba empeta, n'emisagga egyali ku mikono gya mwannyina, era bwe yawulira ebigambo bya Lebbeeka mwaanyina, ng'ayogera nti Bw'atyo omusajja bw'aŋŋambye; n'ajja eri omusajja; era, laba, yali ng'ayimiridde mu mbiriizi z'eŋŋamira awali ensulo.