Genesis 24:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amugamba nti: “Jjangu, ggwe Omukama gw'awadde omukisa; lwaki osigala ebweru? Ntegese ennyumba n'ekifo ky'eŋŋamiya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Labbaani n’amugamba nti, “Jjangu gwe aweereddwa Mukama omukisa. Lwaki obeera eno? Ntegesse ennyumba era n’ekifo ky’eŋŋamira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nti, “Yingira ggwe Mukama gw'awadde omukisa; kiki ekikuyimirizza ebweru? Nteeseteese ennyumba, n'ekifo eky'eŋŋamira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Labani n'agamba nti: “Jjangu tugende eka, ggwe Mukama gw'awadde omukisa. Lwaki osigala ebweru? Nteeseteese ennyumba n'ekifo ky'eŋŋamiya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Yingira ggwe Mukama gw'awadde omukisa; kiki ekikuyimirizza ebweru? kubanga nteeseteese ennyumba, n'ekifo eky'eŋŋamira.