Genesis 24:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo omusajja n'ayingira mu nnyumba, n'atikkula eŋŋamiya n'aziwa omuddo n'essubi, ate naye ne bamuwa amazzi anaabe ebigere, ye n'abasajja abaali bazze naye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo, omusajja n’alaga ku nnyumba, n’asumulula eŋŋamira, ne baziwa essubi n’ebyokulya ne bamuleetera n’amazzi ye n’abasajja be yali nabo banaabe ebigere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusajja n'ayingira mu nnyumba, n'asumulula eŋŋamira; n'aziwa essubi n'eby'okulya byazo, n'amazzi okunaaza ebigere bye n'ebigere by'abasajja abaali naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omusajja n'ayingira mu nnyumba. Labani n'asumulula emigugu ku ŋŋamiya n'aleeta essubi n'ebyokulya eby'eŋŋamiya, era n'amazzi omusajja n'abaali naye ge banaanaaba ebigere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omusajja n'ayingira mu nnyumba, n'asumulula eŋŋamira; n'awa essubi n'ebyokulya eby'ennamira, n'amazzi okunaaza ebigere bye n'ebigere by'abasajja abaali naye.