Genesis 24:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne bamusoosootolera emmere, naye ye n'agamba nti: “Sijja kulya, okutuusa nga mmaze okwogera ebigambo byange.” N'ayanukula nti: “Yogera.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma ne bamuleetera emmere alye. Kyokka ye n’agamba nti, “Sijja kulya nga sinnayogera kindeese.” Labbaani n’amugamba nti, “Yogera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bateeka emmere mu maaso ge alye: naye n'ayogera nti, “Siirye nga sinnayogera bye nnatumibwa.” N'ayogera nti, “Yogera.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja bwe baamuleetera emmere, n'agamba nti: “Sijja kulya nga sinnayanjula bye bantuma.” Labani n'agamba nti: “Yogera.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bateeka emmere mu maaso ge alye: naye n'ayogera nti Siirye nga sinnayogera bye nnatumibwa. N'ayogera nti Yogera.