Genesis 24:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yawa nnyo mukama wange omukisa, yafuuka mugagga; yamuwa endiga n'ente, ffeeza ne zaabu, abaddu n'abazaana, eŋŋamiya n'endogoyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama yawa mukama wange emikisa mingi, era afuuse mukulu, amuwadde ebisibo by’endiga n’amagana g’ente, ne ffeeza ne zaabu, abaweereza abasajja n’abaweereza abakazi era n’eŋŋamira awamu n’endogoyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Mukama yawanga mukama wange omukisa mungi; era afuuse omukulu: era yamuwa embuzi, n'ente, ne ffeeza ne zaabu, n'abaddu n'abazaana, n'eŋŋamira n'endogoyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama yawa mukama wange oyo omukisa, n'amufuula mugagga. Yamuwa amagana g'ente n'embuzi n'endiga. Era yamuwa ffeeza ne zaabu, n'abaddu n'abazaana, n'eŋŋamiya n'endogoyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama yawanga mukama wange omukisa mungi; era afuuse omukulu: era yamuwa embuzi n'ente, ne ffeeza ne zaabu, n'abaddu n'abazaana, n'eŋŋamira n'endogoyi.