Genesis 24:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Saara, muka mukama wange, mu bukadde bwe yamuzaalira omwana ow'obulenzi; yamuwa byonna by'alina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Saala muka mukama wange bwe yali ng’akaddiye yamuzaalira omwana owoobulenzi, era mukama wange awadde oyo byonna by’alina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne Saala mukazi wa mukama wange n'azaalira mukama wange omwana bwe yali ng'akaddiye; era oyo n'amuwa byonna by'alina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne Saara muka mukama wange, n'azaalira mukama wange omwana ow'obulenzi, mu myaka egy'obukadde. Omwana oyo, mukama wange n'amuwa byonna by'alina.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Saala mukazi wa mukama wange n’azaalira! mukama wange omwana bwe yali ng'akaddiye: era oyo n'amuwa. byonna by'alina.