Genesis 24:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukama wange yandayiza ng'agamba nti: ‘Tofuniranga mutabani wange mukazi ng'omuggya mu bawala Abakanaani, bannyini nsi mwe ndi;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama wange yandayiza n’aŋŋamba nti, ‘Towasizanga mutabani wange mukazi ava mu Bakanani ba nnyini nsi mwe mbeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mukama wange n'andayiza, ng'ayogera nti, ‘Toliwasiza mwana wange mukazi aliva mu bawala aba Abakanani, be ntuulira mu nsi yaabwe:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mukama wange n'andayiza n'agamba nti: ‘Towasiza mwana wange mukazi mu bawala ba mu nsi eno mwe mbeera, Abakanaani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mukama wange n'andayiza, ag'ayogera nti Toliwasiza mwana wange mukazi aliva mu bawala aba Abakanani, be ntuulira mu nsi yaabwe: