Genesis 24:40 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba nti: ‘Omukama gwe ndi naye bulijjo, alituma malayika we ogende naye, y'aliwa olugendo lwo okulama, ofunire mutabani wange omukazi ng'omuggya mu ŋŋanda zange, mu nnyumba ya kitange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ye n’anziramu nti, ‘ Mukama oyo gwe ntambulira mu maaso ge alikutumira malayika we mu lugendo lwo era alikuwa omukisa, n’owasiza mutabani wange omukazi okuva mu bantu bange, era mu nnyumba ya kitange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aŋŋamba nti, ‘Mukama, gwe ntambulira mu maaso ge, alituma malayika we wamu naawe, aliwa olugendo lwo omukisa; naawe oliwasiza omwana wange omukazi aliva mu baganda bange, ne mu nnyumba ya kitange;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'aŋŋamba nti: ‘Mukama gwe mpulira bulijjo, alituma malayika we wamu naawe, n'awa olugendo lwo omukisa, owasize omwana wange omukazi, aliva mu baganda bange, ne mu maka ga kitange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aŋŋamba nti Mukama, gwe ntambulira, mu maaso ge, alituma malayika we wamu naawe, aIiwa olugendo lwo omukisa; naawe oliwasiza omwana wange omukazi aliva mu baganda bange, ne mu nnyumba ya kitange: