Genesis 24:41 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'oliba otuuse mu baganda bange, olwo oliba tokyasibwa kirayiro kyange, ne bwe batalimukuwa, oliba tokyasibwa kirayiro kyange.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ekirayiro kyange tekirikubaako bw’olituuka mu bantu bange ne batamukuwa, nga ggwe toliiko musango.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bw'otyo tolibaako musango olw'ekirayiro kyange, bw'olituuka mu baganda bange; nabo bwe batalikuwa mukazi, ggwe nga toliiko musango olw'ekirayiro kyange.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kimu kyokka ekirikuwonya omusango: bw'olituuka mu baganda bange, ne batakuwa mukazi, olwo tolibaako musango olw'ekirayiro ky'ondayiridde.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bw'otyo tolibaako musango olw'ekirayiro kyange, bw'olituuka mu baganda bange; nabo bwe batalikuwa mukazi, ggwe nga toliiko musango olw'ekirayiro kyange.