Genesis 24:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwa leero bwe ntuuse ku luzzi, ne nsaba nti: ‘Ayi Mukama Katonda wa mukama wange Yiburayimu, singa nno olugendo lwange lwe ntambudde oluwadde okulama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Leero bwe ntuuse ku luzzi, ne ŋŋamba nti, ‘Ayi Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, obanga onoowa omukisa olugendo luno lwe ndiko,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Leero ne njija awali oluzzi, ne njogera nti, ‘Ayi Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, bw'onoowa kaakano omukisa olugendo lwange lwe ŋŋenda,’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Olwaleero natuuse ku luzzi, ne ŋŋamba nti: ‘Ayi Mukama, Katonda wa mukama wange Aburahamu, oba onoowa olugendo lwange omukisa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Leero ne njija awali oluzzi, ne njogera nti Ai Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, bw'onoowa kaakano omukisa olugendo lwange lwe ŋŋenda: