Genesis 24:43 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wuuno nyimiridde ku luzzi, omuwala embeerera anaafuluma okukima amazzi bwe nnaamusaba nti: “Mpa ku tuzzi nnyweko mu nsuwa yo,”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
laba, nnyimiridde awali oluzzi, kale omuwala anajja okusena amazzi, ne mugamba nti, “Nkusaba ku tuzzi mu nsuwa yo nyweko,”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
laba, nnyimiridde awali ensulo y'amazzi; kale kibeere bwe kiti; omuwala anaafuluma okusena, gwe nnaagamba nti, ‘Ompe, nkwegayiridde, otuzzi mu nsuwa yo nnywe.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
laba, kaakano nnyimiridde wano ku luzzi. Kale nsaba kibe bwe kiti: omuwala anajja okusena amazzi gwe nnaagamba nti nkwegayiridde, mpa ku mazzi mu nsuwa yo nnyweko,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
laba, nnyimiridde awali ensulo y'amazzi; kale kibeere bwe kiti; omuwala anaafuluma okusena, gwe nnaagamba nti Ompe, nkwegapiridde, otuzzi mu nsuwa yo nnywe: