Genesis 24:44 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
amala agamba nti: “Nywa, n'eŋŋamiya zo nzija kuzisenera,” nga ye oyo omukazi Omukama gwe yategekera mutabani wa mukama wange.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’anziramu nti, “Nnywa, era n’eŋŋamira zo nazo nzija kuzisenera,” oyo y’aba abeera omukazi Mukama gw’alondedde mutabani wa mukama wange.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye anaŋŋamba nti, ‘nywa ggwe, era nze naasenera n'eŋŋamira zo,’ oyo abeere oyo Mukama gwe yalagirira omwana wa mukama wange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ye n'aŋŋamba nti nywa, era n'eŋŋamiya zo ka nzisenere zinywe, nga ye wuuyo Mukama gw'alondedde omwana wa mukama wange.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye anaŋŋnamba nti nywa ggwe, era nze naasenera n'eŋŋamira zo: oyo abeere oyo Mukama gwe yalagirira omwana wa mukama wange.