Genesis 24:45 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nabadde nkyalowooza ebyo mu mutima gwange, Rebekka n'avaayo nga yeetisse ensuwa ku kibegabega, n'aserengeta ku luzzi n'asena amazzi ne mmugamba nti: ‘Mpa nnyweko katono.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Laba, bwe nabadde nga nkyayogera mu mutima gwange, Lebbeeka n’avaayo n’ensuwa ye ng’eri ku kibegabega kye, n’aserengeta ku luzzi n’asena amazzi. Ne mugamba nti, ‘Nkusaba ompe nyweko.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bwe mbadde nga nkyayogera mu mutima gwange, laba, Lebbeeka n'afuluma ng'alina ensuwa ye ku kibegabega kye: n'aserengeta ku nsulo, n'asena: ne mmugamba nti, ‘Nnywe, nkwegayiridde.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe nabadde nga nkyayogera ebyo mu mutima gwange, Rebbeeka n'ajja ng'alina ensuwa ku kibegabega kye, n'aserengeta ku luzzi okusena amazzi. Ne mmugamba nti: ‘Nkwegayiridde, mpa ku mazzi nnyweko.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe mbadde nga nkyayogera mu mutima gwange, laba, Lebbeeka n'afuluma ng'alina ensuwa ye ku kibegabega kye: n'aserengeta ku nsulo, n’asena: ne mmugamba nti Nnywe, nkwegayiridde.
Recommended Reading