Genesis 24:46 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amangu ago n'assa ensuwa okuva ku kibegabega n'aŋŋamba nti: ‘Nywa, n'eŋŋamiya zo nzija kuzinywesa.’ Ne nnywa n'eŋŋamiya n'azinywesa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nassa mangu ensuwa ye okuva ku kibegabega kye, n’agamba nti, ‘Nnywa, era nnaanywesa n’eŋŋamira zo.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayanguwa, n'assa ensuwa ye okuva ku kibegabega kye, n'ayogera nti, ‘Nywa, nange naanywesa n'eŋŋamira zo,’ ne nnywa, naye n'anywesa n'eŋŋamira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amangwago ne yeetikkula ensuwa ye ku kibegabega kye, n'agamba nti: ‘Nywa, era n'eŋŋamiya zo nnaazisenera.’ Ne nnywa, era n'eŋŋamiya n'azinywesa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayanguwa, n'assa ensuwa ye okuva ku kibegabega kye, n'ayogera nti Nywa, nange naanywesa n'eŋŋamira zo: ne nnywa, naye n'anywesa n'eŋŋamira.