Genesis 24:47 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Namubuuzizza nti: ‘Oli muwala w'ani?’ N'annyanukula nti: ‘Ndi muwala wa Betweli mutabani wa Nakori, Miluka gwe yamuzaalira.’ Namussizza empeta mu nnyindo, n'emikono ne ngissaako obukomo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kwe ku mubuuza nti, ‘Oli muwala w’ani?’ N’anziramu nti, ‘Ndi muwala wa Besweri, mutabani wa Nakoli, Mirika gwe yamuzaalira.’ Ne nteeka empeta ku nnyindo ye n’ebikomo ku mikono gye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mmubuuza nti, ‘Ggwe oli muwala w'ani?’ N'addamu nti, ‘Ndi muwala wa Bessweri, omwana wa Nakoli, Mirika gwe yamuzaalira.’ Awo ne nnaanika empeta mu nnyindo ye, n'ebikomo ku mikono gye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mmubuuza nti: ‘Oli mwana w'ani?’ N'addamu nti: ‘Ndi mwana wa Betweli, mutabani wa Nahori ne Milika.’ Ne nnaanika empeta mu nnyindo ye, n'obukomo ku mikono gye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mmubuuza ne njogera nti Ggwe oli mwana w'ani? N'ayogera nti Mwana wa Bessweri, omwana wa Nakoli, Mirika gwe yamuzaalira: ne nnaanika empeta mu nnyindo ye, n'emisagga ku mikono gye.

Recommended Reading