Genesis 24:49 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno kati, oba mukama wange mumugiridde ekisa n'okumulaga obwesigwa, muntegeeze; oba si bwe kiri, nakyo mukiŋŋambe ntere nsale amagezi amalala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale kaakano obanga mu mazima munaakolera mukama wange ebyekisa, mumbuulire, era obanga si bwe kityo mumbuulire; ndyoke mmanye eky’okukola.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kaakano, oba munakkiriza okukolera mukama wange eby'ekisa n'eby'amazima, mmumbuulire. Oba temukkirize, era mmumbuulire, ndyoke nsalewo kye nnaakola.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano, oba munakkiriza okukolera mukama wange eby'ekisa n'eby'amazima, mumbuulire. Oba temukkirize, era mumbuulire, ndyoke nsalewo kye nnaakola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne kaakaano bwe munakkiriza okukolera mukama wange eby'ekisa n'eby'amazima, mumbuulire; era bwe mutakkirize, mumbuulire; ndyoke nkyukire ku mukono ogwa ddyo, oba ku gwa kkono.