Genesis 24:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuweereza n'ayanukula nti: “Omukazi bw'atalyagala kujja nange mu nsi eno, olwo mutabani wo si gwe nditeekwa okuzza mu nsi gye wava?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuddu kwe ku mubuuza nti, “Omukazi bw’ataliyagala kujja nange mu nsi eno, ndizzaayo mutabani wo mu nsi mwe wava?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuddu n'amugamba nti, “Omukazi bw'atalikkiriza kujja nange mu nsi eno, olwo omwana wo gwe nditwala mu nsi gye wavaamu?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuweereza n'agamba nti: “Omukazi bw'atalikkiriza kuva waabwe kujja nange mu nsi eno? Olwo mutabani wo gwe ndizzaayo mu nsi gye wava?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuddu n'amugamba nti Mpozzi omukazi talikkiriza kujja nange okutuuka mu nsi eno: kirignwanira okuzza omwana wo mu asi gye wavaamu?