Genesis 24:51 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Rebekka wuuyo awo mu maaso go; mutwale abeere mukazi wa mutabani wa mukama wo, ng'Omukama bwe yagambye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, Lebbeeka wuuyo, mutwale, agende abeere muka mutabani wa mukama wo, nga Mukama bw’alagidde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, Lebbeeka wuuyo, mutwale, mugende, abeere mukazi w'omwana wa mukama wo, Mukama nga bw'ayogedde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Rebbeeka wuuno wano, mutwale ogende, abe mukaamwana wa mukama wo, nga Mukama yennyini bw'ayogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, Lebbeeka ali mu maaso go, mutwale, ogende, abeere mukazi w'omwana wa mukama wo, Mukama aga bw'ayogedde.