Genesis 24:53 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'aggyayo amayinja ag'omuwendo, aga ffeeza n'aga zaabu, n'ebyambalo, n'abiwa Rebekka; era ne mwannyina Rebekka ne nnyina nabo n'abawa ebirabo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’aggyayo eby’obugagga ebya ffeeza ne zaabu, n’ebyambalo n’abiwa Lebbeeka, era n’awa mwannyina ne nnyina ebirabo eby’omuwendo omungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuddu n'aleeta amakula aga ffeeza n'aga zaabu n'ebyambalo, n'abiwa Lebbeeka; era n'awa ne mwannyina ne nnyina ebintu eby'omuwendo omungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'aggyayo amakula aga ffeeza n'aga zaabu n'ebyambalo, n'abiwa Rebbeeka. Era n'awa ne mwannyina ebirabo eby'omuwendo ennyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuddu n'aleeta amakula aga ffeeza n'amakula aga zaabu n'ebyambalo, n'abiwa Lenbeeka: era n'awa ne mwannyina ne nayina ebintu eby'omuwendo omungi.