Genesis 24:54 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne balya ne banywa, ye n'abantu be abaali naye, ne basula awo. Bwe baazuukuka ku makya omuweereza n'agamba nti: “Mundeke nzire eri mukama wange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ye n’abasajja be yali nabo ne balyoka balya era ne banywa; ne basulayo ekiro ekyo. Bwe baagolokoka enkya n’agamba nti, “Ka nzireyo eri mukama wange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omuddu wa Ibulayimu n'abasajja be yali nabo ne balya ne banywa, ne basula wo; enkya ku makya, n'ayogera nti, “Munsiibule ŋŋende eri mukama wange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omuweereza wa Aburahamu, n'abasajja abaali naye, ne balya ne banywa, ne basula awo. Bwe baagolokoka ku makya, omuweereza n'agamba nti: “Munsiibule nzireyo eri mukama wange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne balya ne banywa; ye n'abasajja abaali naye, ne basula ne bakeesa obudde; ne bagolokoka enkya, n'ayogera nti Munsiibute yende eri mukama wange.