Genesis 24:55 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwannyina w'omuwala ne nnyina ne bamwanukula nti: “Omuwala asigaleko naffe ennaku nga kkumi, oluvannyuma ogende.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwannyina ne nnyina ne bamuddamu nti, “Leka omuwala abeereko naffe akaseera, wakiri ennaku kkumi, olwo mulyoke mugende.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mwannyina wa Lebbeeka ne nnyina ne bamuddamu nti, “Omuwala k'agira abeerako naffe ennaku ntono, gamba nga kkumi, oba okusingawo; alyoke agende.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwannyina Rebbeeka ne nnyina ne bagamba nti: “Omuwala k'agira abeerako naffe ennaku ntonotono, gamba nga kkumi, alyoke agende.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mwannyina ne nnyina ne boogera nti Omuwala abeere naffe amale eanaku si nnyingi, ekkumi oba kusingawo; alyoke agende.