Genesis 24:56 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'agamba nti: “Temunsibaasiba; kati ng'Omukama amaze n'awa olugendo lwange okulama; mundeke ŋŋende nzire eri mukama wange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ye n’abaddamu nti, “Temundwisa, kubanga Mukama awadde olugendo lwange omukisa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuddu wa Ibulayimu n'addamu nti, “Temundwisa, munsiibule ŋŋende eri mukama wange; kubanga Mukama awadde olugendo lwange omukisa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja n'agamba nti: “Muleme kundwisa kubanga Mukama awadde olugendo lwange omukisa. Munsiibule nzireyo eri mukama wange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Tondwisa, kubanga Mukama awadde omukisa olugendo lwange; munsiibule ŋŋende eri mukama wange.