Genesis 24:60 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne baagaliza Rebekka omukisa nga bagamba nti: “Mwannyinaffe, weeyongere n'okutuuka ku nkumi n'amakumi g'enkumi. Ezzadde lyo lyezze ebibuga by'abalabe baalyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne basabira Lebbeeka omukisa ne bamugamba nti, “Mwannyinaffe beera nnyina w’enkumi n’enkumi, abaana n’abazzukulu bo balyenga ebibuga by’abalabe baabwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne basabira Lebbeeka omukisa, nga bagamba nti, “Mwannyinaffe, beeranga nnyina w'abantu emitwalo n'enkumi, n'ezzadde lyo liwangulenga abalabe baabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne basabira Rebbeeka omukisa, ne bagamba nti: “Mwannyinaffe, beera nnyina w'abantu nkumi na nkumi. Ne bazzukulu bo bawangulenga ebibuga by'abalabe baabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne basabira Lebbeeka omukisa, ne bamugamba nti Mwannyinaffe, beeranga nnyina w’abantu obukumi enkumi n’ezzadde lyo liryenga omulyango gw’abo ababakyawa.