Genesis 24:61 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'atyo Rebekka n'abazaana be ne basituka ne beebagala eŋŋamiya, ne bagoberera omusajja; omuweereza bw'atyo n'atwala Rebekka, n'agenda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Lebbeeka n’abaweereza be ne basituka ne beebagala eŋŋamira ne bagenda n’omuweereza wa Ibulayimu omusajja, bw’atyo omuddu n’atwala Lebbeeka ne bagenda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Lebbeeka n'abazaana be ne basituka, ne beebagala ku ŋŋamira, ne bagenda n'omuddu wa Ibulayimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Rebbeeka n'abazaana be ne basituka ne beebagala ku ŋŋamiya, ne bagenda n'omuweereza wa Aburahamu. Bw'atyo omusajja oyo n'atwala Rebbeeka, n'agenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lebbeeka n’agolokoka n’abazaana be, ne beebagala ku ŋŋamirane bagenda n’omusajja: omuddu n’atwala Lebeeka ne yeegendera.