Genesis 24:63 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yali agenzeeko mu nnimiro okutambulatambulako, olunaku lwali lweyerawo, bwe yayimusa amaaso n'alaba eŋŋamiya nga zijja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe yali ng’atambula nga bw’afumiitiriza mu nnimiro akawungeezi, n’ayimusa amaaso ge n’alengera eŋŋamira nga zijja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Isaaka bwe yali ng'atambulatambulako akawungeezi mu nnimiro, n'alengera eŋŋamira nga zijja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yisaaka n'afuluma akawungeezi okutambulako mu nnimiro. N'ayimusa amaaso ge, n'alengera eŋŋamiya nga zijja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isaaka n'afuluma okufumiitiriza mu nnimiro akawungeezi: n'ayimusa amaaso ge, n'atula, era, laba, eŋŋamira nga zijja.