Genesis 24:65 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'agamba omuweereza nti: “Oyo ayita mu nnimiro ng'ajja okutusisinkana ye ani?” N'amuddamu nti: “Ye mukama wange.” Mangu Rebekka n'addira ekiremba kye ne yeebikkako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’abuuza omuddu nti, “Ani oyo gwe nnengera mu nnimiro ajja okutusisinkana?” Omuddu n’addamu nti, “Ye mukama wange.” Lebbeeka kwe kutoola omunagiro gwe ne yeebikkirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lebbeeka n'abuuza omuddu wa Ibulayimu nti, “ Omusajja oyo atambula mu nnimiro ng'ajja gyetuli ye ani?” Omuddu n'addamu nti, “Ye mukama wange;” awo Lebbeeka n'addira olugoye lwe olubikka mu maaso ne yeebikkako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'abuuza omuweereza wa Aburahamu nti: “Omusajja oyo atambula mu nnimiro ng'ajja gye tuli, ye ani?” Omuweereza n'addamu nti: “Ye mukama wange.” Rebbeeka n'addira ekiremba kye, ne yeebikka mu maaso.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba omuddu nti Musajja ki oyo atambulira mu ninniro okutusisinkaana? Omuddu n’ayogera nti Ye mukama wange: n’addira olugoye lwe olubikka mu maaso ne yeebikkako.