Genesis 24:67 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yizaake n'ayingiza Rebekka mu weema ya Saara nnyina, n'amuwasa, n'afuuka mukazi we; n'amwagala; bw'atyo Yizaake n'akubagizibwa olw'okufiirwa nnyina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Isaaka n’atwala Lebbeeka n’amuyingiza mu weema eyali eya Saala nnyina, n’afuuka mukazi we n’amwagala. Isaaka n’alyoka afuna essanyu kasookedde afiirwa nnyina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isaaka n'atwala Lebbeeka mu weema eyali eya Saala nnyina, okuba mukazi we. Isaaka n'amwagala; n'akubagizibwa, nnyina ng'amaze okufa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yisaaka n'aleeta Rebbeeka mu weema eyali eya Saara nnyina, n'amufuula mukazi we. Yisaaka n'ayagala Rebbeeka, bw'atyo n'akubagizibwa olwa nnyina gwe yafiirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isaaka n'amuleeta mu nnyumba nnyina Saala, n'awasa Lebbeeka, n'aba mukazi we; n'amwagala: Isaaka n'asanyusibwa nnyina bwe yamala okufa.