Genesis 24:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda w'eggulu, eyanzigya mu nnyumba ya kitange, ne mu nsi y'obuzaale bwange, eyaŋŋamba, n'alayira n'okulayira nti: ‘Ezzadde lyo ndiriwa ensi eno,’ yennyini alikukulembezaamu malayika we, n'ofunira eyo mutabani wange omukazi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama, Katonda w’eggulu, eyanzigya mu nnyumba ya kitange, mu nsi mwe nazaalibwa eyayogera nange era n’andayirira nti, ‘Ezadde lyo ndiriwa ensi eno,’ alituma malayika we n’akukulembera owasirize mutabani wange omukazi era omuggyeyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama, Katonda w'eggulu, eyanzigya mu nnyumba ya kitange, ne mu nsi mwe nnazaalirwa, era eyayogera nange, nandayirira, ng'agamba nti, ‘Ezzadde lyo ndiriwa ensi eno;’ oyo alituma malayika we okukukulembera, naawe oliwasiza omwana wange omukazi aliva eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda w'eggulu eyanzigya mu nnyumba ya kitange, ne mu nsi gye nazaalibwamu, era eyayogera nange n'andayirira nti bazzukulu bange alibawa ensi eno, alituma malayika we okukukulembera, owasize omwana wange omukazi aliva eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama, Katonda w'eggulu, eyanziya mu nnyumba ya kitange, ne mu nsi mwe nnazaalirwa, era eyayogera nange, nandayirira, ng'agamba nti Ezzadde lyo ndiriwa ensi eno; oyo alituma malayika we okukukulembera, naawe oliwasiza omwana wange omukazi aliva eyo.