Genesis 24:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukazi bw'atalyagala kujja naawe, oliba tokyasibwa kirayiro kyange, naye ye mutabani wange tomuzzangayo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omukazi bw’aligaana okujja naawe, olwo ekirayiro kino kiriba tekikyakusiba. Kyokka togezanga n’ozzaayo omwana wange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omukazi bw'atalikkiriza kujja naawe, kale nga toliiko musango olw'ekirayiro kyange kino; Naye ky'otetantalanga kwe kuzzaayo omwana wange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye omukazi bw'atalikkiriza kujja naawe, tolibaako musango olw'ekirayiro kino ky'ondayiridde. Naye ky'otogezanga kukola, kwe kuzzaayo omwana wange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omukazi bw'aliba nga takkirizza kujja naawe, kale nga toliiko musango olw'ekirayiro kyange kino; kino kyokka, obutamuzzaayo mwana wange.