Genesis 24:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuweereza n'assa omukono wansi w'ekisambi kya Yiburayimu mukama we, n'amulayirira ku kigambo ekyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omuddu kwe kuteeka omukono gwe wansi w’ekisambi kya mukama we Ibulayimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuddu n'assa omukono gwe wansi w'ekisambi kya Ibulayimu mukama we, n'amulayirira mu kigambo ekyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuweereza n'ateeka ekibatu kye wansi w'ekisambi kya Aburahamu mukama we, n'amulayirira mu ebyo Aburahamu bye yasaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuddu n'assa omukono gwe wansi w'ekisambi kya Ibulayimu mukama we, n'amulayirira mu kigambo ekyo.