Genesis 25:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yiburayimu bwe yamala okufa Katonda n'awa omukisa mutabani we Yizaake, eyabeeranga okumpi ne Beeri-Lakayiroyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ibulayimu bwe yafa, Katonda n’awa mutabani we Isaaka omukisa, Isaaka n’abeera e Beerirakayiroyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Ibulayimu ng'amaze okufa Katonda n'awa Isaaka omwana we omukisa; Isaaka n'atuulanga e Beerirakairoi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburahamu bwe yamala okufa, Katonda n'awa Yisaaka omukisa, Yisaaka n'abeeranga kumpi ne Beerulakayirooyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Ibulayimu ng'amaze okufa Katonda n'awa Isaaka omwana we omukisa; Isaaka n'atuulanga ku Beerirakairoi.