Genesis 25:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gano ge mazadde ga Yisimayeli mutabani wa Yiburayimu eyamuzaalirwa Agari Omumisiri omuzaana wa Saara.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Isimayiri mutabani wa Ibulayimu eyazaalibwa Agali Omumisiri, omuweereza wa Saala omuwala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Isimaeri, omwana wa Ibulayimu, Agali Omumisiri, omuzaana wa Saala gwe yazaalira Ibulayimu be bano nga bwe baddiŋŋanwako:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisimayeli, Agari Omumisiri omuzaana wa Saara gwe yazaalira Aburahamu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era okuzaala kwa Isimaeri, omwana wa Ibulayimu Agali Omamisiri, omuzaana wa Saala, gwe yazaalira Ibulayimu, kwe kuno: