Genesis 25:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abo be batabani ba Yisimayeli; ate gano ge mannya g'abakulu b'ebika byabwe okusinziira ku byalo byabwe n'ensiisira zaabwe: abalangira ekkumi n'ababiri ng'amawanga gaabwe bwe gaali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo be batabani ba Isimayiri, era ago ge mannya gaabwe, mu byalo ne mu bibuga byabwe mwe baabeeranga, abafuzi kkumi na babiri buli omu n’eggwanga lye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo be baana ba Isimaeri, bajjajja b'ebika ekkumi n'ebibiri, era amannya gaabwe gaatuumibwa ebyalo byabwe, n'ebifo mwe baasimba eweema zaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo be baana ba Yisimayeli, bajjajja b'ebika kkumi na bibiri, era amannya gaabwe gaatuumibwa ebyalo byabwe, n'ebifo mwe baakuba eweema zaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abo be baana ba Isimaeri, era ago ge mannya gaabwe, ng'ebyalo byabwe bwe byali, era nga bwe baakuba eweema zaabwe; abalangira kkumi na babiri ng'amawanga gaabwe bwe gaali.