Genesis 25:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awamu Yisimayeli yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu; n'assa omukka omuvannyuma, n'agattibwa ku bantu be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Isimayiri yafa ng’awezezza emyaka kikumi mu asatu mu musanvu n’atwalibwa mu babe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isimaeri n'afa ng'awangadde emyaka kikumi mu asatu mu musanvu (137); n'aziikibwa awali abantu be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisimayeli yafa ng'awezezza emyaka kikumi mu asatu mu musanvu, n'atwalibwa eri bajjajjaabe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'emyaka gya Isimaeri gye yamala, emyaka kikumi mu asatu mu musanvu: n'ata omukka n'afa; n'atwalibwa eri abantu be.