Genesis 25:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yabeeranga mu nsi eyeerambise okuva e Kavila okutuuka e Suru, ku nsalo ya Misiri, ng'ogenda mu Assuri. Yali mulumbaganyi eri baganda be bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu be baatuula okuviira ddala mu Kavira ne batuuka ku Ssuuli okuliraana Misiri ku luuyi olwa Bwasuli. Ennaku zaabwe zonna baawalananga baganda baabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Isimaeri ne batuula okuva e Kavira okutuuka e Ssuuli, okwolekera Misiri, ng'ogenda e Bwasuli; nga beesudde ku baana ba Ibulayimu abalala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bazzukulu ba Yisimayeli baabeera mu kitundu ekiri wakati wa Avila ne Suuri, ebuvanjuba bwa Misiri, ng'ogenda mu Assiriya, nga beesudde ku bazzukulu ba Aburahamu abalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batuula okuva ku Kavira okutuuka ku Ssuuli ekitunuulira Misiri, ng'ogenda e Bwasuli: yatuulanga mu maaso ga baganda be bonna.