Genesis 25:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yizaake yali aweza emyaka amakumi ana n'awasa Rebekka muwala wa Betweli Omwaramu ow'omu Paddani-Aramu mwannyina Labani Omwaramu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Isaaka yalina emyaka amakumi ana, we yawasiza muwala wa Besweri Omusuuli ow’e Padanalaamu, eyayitibwanga Lebbeeka mwannyina wa Labbaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isaaka yali awezezza emyaka ana (40) bwe yawasa Lebbeeka, omwana wa Bessweri Omusuuli ow'e Padanalaamu. Labbaani ye yali mwannyina Lebbeeka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisaaka yali awezezza emyaka amakumi ana, n'awasa muwala wa Betweli Omwarumeeni ow'e Paddanaraamu, ayitibwa Rebbeeka, mwannyina Labani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era Isaaka yali yaakamaze emyaka ana bwe, yawasa Lebbeeka, omwana wa, Bessweri Omusuuli ow'e Padanalaamu, mwannyina Labbaani Omusuuli, okuba mukazi we.