Genesis 25:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye abaana mu lubuto baali bakoonagana. Rebekka n'agamba nti: “Lwaki kino kintuuseeko?” N'agenda okwebuuza ku Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana bombi ne bagulumbira mu lubuto lwe, Lebbeeka n’agamba nti, “Obanga kiri bwe kityo, lwaki mba omulamu?” Awo n’agenda ne yeebuuza ku Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ne bawakanira mu nda ye; n'ayogera nti, “Bwe kiri bwe kityo kyenva mbeera omulamu kiki?” N'agenda okubuuza Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lwali lwa balongo, era bwe baali nga tebannazaalibwa, ne bakoonaganira mu lubuto lwe. Rebbeeka n'agamba nti: “Oba bwe kiri bwe kiti, nze ndiba ntya?” N'agenda okwebuuza ku Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ne bawakanira mu nda ye; n'ayogera nti Bwe kiri bwe kityo, kyenva mbeera, omulamu kiki? N'agenda okubuuza Mukama.