Genesis 25:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'amwanukula nti: “Amawanga abiri gali mu lubuto lwo; amawanga abiri agava mu ggwe galyawukana, eggwanga erimu lirisukkuluma ku ddala, omukulu aliweereza omuto.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’amuddamu nti, “Mu lubuto lwo mulimu amawanga abiri, abantu ababiri b’olizaala balibeera ba njawulo, omu alibeera w’amaanyi okusinga munne, era omukulu yaaliweereza omuto.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'amugamba nti, “Amawanga abiri gali mu lubuto lwo, N'ebika ebibiri biryawukana n'okuva mu byenda byo: N'eggwanga erimu linaasinganga eggwanga eddala amaanyi; N'omukulu anaaweerezanga omuto.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba nti: “Amawanga abiri gali mu lubuto lwo. Olizaala ebika bibiri ebyawukanye. Ekimu kinaasinzanga ekirala amaanyi, omukulu ye anaaweerezanga omuto.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'amugamba nti Amawanga abiri gali mu lubuto lwo. N'ebika ebibiri biryawukana n'okuva mu byenda byo: N'eggwanga erimu linaasinganga eggwanga eddala amaanyi; N'omukulu anaaweerezanga omuto.