Genesis 25:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma muganda we n'afuluma omukono gwe nga gukutte ekisinziiro kya Ezawu; kwe kuyitibwa Yakobo. Abaana we baazaalirwa nga Yizaake wa myaka nkaaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma ne muganda we n’azaalibwa, omukono gwe nga gukutte ekisinziiro kya Esawu; kyebaava bamuyita Yakobo. Isaaka yalina emyaka nkaaga Lebbeeka we yazaalira abaana abo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muganda we n'amuddirira n'avaamu, omukono gwe nga gukutte ekisinziiro kya Esawu; n'erinnya lye ne bamutuuma Yakobo; era Isaaka yali awezezza emyaka nkaaga (60), mukazi we bwe yabazaala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oluvannyuma n'owookubiri n'afuluma, ng'omukono gwe gukutte ku kisinziiro kya Esawu. Ne bamutuuma erinnya Yakobo. Rebbeeka yabazaala nga Yisaaka awezezza emyaka nkaaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muganda we n'amuddirira n'avaamu, omukono gwe nga gukutte ekisinziiro kya Esawu; n'erinnya lye ne bamutuuma Yakobo: era Isaaka yali yaakamaze emyaka nkaaga, mukazi we bwe yabazaala.