Genesis 25:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'agamba Yakobo nti: “Mpa ku nva emmyufu, enva emmyufu, kubanga enjala ennuma.” Kyeyava ayitibwa erinnya lye Edomu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Esawu n’agamba Yakobo nti, “Mpa mpute ku nva ezo, kubanga enjala ejula kunzita.” Kyeyava ayitibwa Edomu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Esawu n'agamba Yakobo nti, “Ndiisa, nkwegayirira, omugoyo ogwo omumyufu; kubanga sirina maanyi.” Kyebaava bamuyita Edomu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba Yakobo nti: “Enjala enzita! Mpa ndye ku mugoyo ogwo omumyufu.” Kyebaava bamuyita Edomu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Esawu n'agamba Yakobo nti Ndiisa, nkwegayirira, omugoyo ogwo omumyufu; kubanga sirina maanyi: erinnya lye kye lyava liyitibwa Edomu.