Genesis 25:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo n'agamba nti: “Sooka ondayirire.” Ezawu n'alayira; n'aguza Yakobo bw'atyo obukulu bwe obw'obuggulanda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yakobo n’addamu nti, “Sooka ondayirire.” Awo Esawu n’amulayirira, olwo n’aguza Yakobo obukulu bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'amugamba nti, “Ndayirira leero,” n'amulayirira, Esawu n'aguza Yakobo eby'obukulu bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo n'agamba nti: “Ndayirira kaakano nti obukulu bwo obunguzizza.” Esawu n'amulayirira, n'aguza Yakobo obukulu bwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo n'amugamba nti Ndayirira leero; n'amulayirira: n'aguza Yakobo eby'obukulu bwe.