Genesis 25:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo n'amuwa omugaati n'enva ez'empokya; n'alya, n'awuuta, n'asituka ne yeetambulira gage. Bw'atyo Ezawu obukulu bwe obw'obuggulanda n'atabulabamu kantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yakobo n’alyoka awa Esawu emmere n’enva, n’alya n’anywa, n’agolokoka n’agenda. Bw’atyo Esawu n’anyooma obukulu bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'awa Esawu emmere n'omugoyo gw'ebijanjaalo; n'alya, n'anywa, n'agolokoka, n'agenda. Bw'atyo Esawu n'anyooma eby'obukulu bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yakobo n'awa Esawu omugaati n'omugoyo gw'ebijanjaalo. Esawu n'alya era n'anywa, n'asituka n'agenda. Bw'atyo Esawu bwe yanyoomoola obukulu bwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo n'awa Esawu emmere n'omugoyo gw'ebijanjaalo; n'alya, n'anywa, n'agolokoka, ne yeegendera: bw'atyo Esawu n'anyooma eby'obukulu bwe.