Genesis 25:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yali akyali mulamu, batabani ba basebeyi be abalala yabawa ebirabo n'abaawula ku Yizaake mutabani we, n'abasindika ku ludda olw'ebuvanjuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bo abaana b’abaweereza be n’abawa birabo, n’abasiibula bwe yali ng’akyali mulamu bagende ebuvanjuba mu nsi ey’ebuvanjuba; baviire mutabani we Isaaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abaana be abalenzi abalala n'abawa ebirabo. N'abasindika okuva awali omwana we Isaaka, bwe yali ng'akyali mulamu, bagende mu nsi ey'obuvanjuba bwa Kanani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Aburahamu bwe yali ng'akyali mulamu, n'awa ebirabo abaana ba bakazi be abalala be baamuzaalira. N'abasindika mu nsi ey'Ebuvanjuba, bave awali omwana we Yisaaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abaana abasajja ab'abazaana, Ibulayimu be yalina, Ibulayimu n'abawa bo ebirabo; n'abasindika okuva eri Isaaka omwana we, bwe yali ng'akyali mulamu, bagende ebuvanjuba, mu nsi ey'ebuvanjuba.