Genesis 25:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yiburayimu n'assa omukka gwe omuvannyuma, n'afiira ku bukadde obulungi, omuntu omukadde, agundidde mu myaka, n'agattibwa ku bantu be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ibulayimu yafa ng’akaddiyidde ddala, nga musajja awangaalidde ddala obulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulayimu n'afa nga mukadde nnyo, n'aziikibwa ku butaka bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'afa nga musajja mukadde, ow'emyaka egituukiridde, n'atwalibwa eri bajjajjaabe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ibulayimu n’ata omukka n'afa ng'amaze okuwangaala obulungi, nga mukadde emyaka gye nga gituukiridde: n'atwalibwa eri abantu be.