Genesis 26:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enjala yagwa mu nsi, eyookubiri okuva ku eyo eyagwa mu biseera bya Yiburayimu. Yizaake n'agenda ewa Abimeleki kabaka w'Abafilisitiini e Gerari.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne wabaawo enjala mu nsi, eteri eri eyabaawo mu biseera bya Ibulayimu. Isaaka n’agenda mu Gerali, ewa Abimereki kabaka w’Abafirisuuti.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne wagwa enjala mu nsi, endala so si eyo eyolubereberye eyagwa mu nnaku za Ibulayimu. Isaaka n'agenda eri Abimereki kabaka wa Abafirisuuti mu Gerali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne wagwa enjala mu nsi, eteri eyo ey'olubereberye eyagwa mu biro bya Aburahamu. Yisaaka n'agenda eri Abimeleki, kabaka w'Abafilistiya mu Gerari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne wagwa enjala mu nsi, endala so si eyo ey'olubereberye eyagwa mu nnaku za Ibulayimu. Isaaka n'agenda eri Abimereki kabaka wa Abafirisuuti mu Gerali.