Genesis 26:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo enzizi zonna abaweereza ba kitaawe ze baali basimye mu budde bwa Yiburayimu Abafilisitiini ne baziziba nga bajjuzaamu ettaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyebaava bajjuza enzizi zonna abaddu ba kitaawe ze baasima mu biro bya kitaawe Ibulayimu, ne baziziba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abafirisuuti baali bazibye enzizi zonna abaddu ba Ibulayimu, kitaawe, ze baali basimye era nga bazijjuzizzaamu ettaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne baziba enzizi zonna, abaddu ba kitaawe Aburahamu ze baasima nga Aburahamu akyali mulamu, ne bazijjuzaamu ettaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo enzizi zonna abaddu ba kitaawe ze baasimira mu nnaku za Ibulayimu kitaawe, Abafirisuuti baali nga bazizibye era nga bazijjuzizza ettaka.