Genesis 26:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Abimeleki n'agamba Yizaake nti: “Tuviire, kubanga otusukkiridde nnyo amaanyi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne Abimereki n’agamba Isaaka nti, “Ggenda, tuveemu kubanga otuyitiridde amaanyi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abimereki n'agamba Isaaka nti, “Genda, tuveemu; kubanga ofuuse w'amaanyi nnyo okutusinga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abimeleki n'agamba Yisaaka nti: “Va mu nsi yaffe, kubanga ofuuse wa maanyi okutusinga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abimereki n'agamba Isaaka nti genda tuveeko; kubanga otusinga nnyo amaanyi.